Karim Hirji Poliisi emukunyizza
Автор: Akawungeezi
Загружено: 2013-03-18
Просмотров: 1316
Описание:
http://www.ntvuganda.co.ug
Poliisi olwaleero esiibye esoya ssebintu Karim Hirji, ku nkung'aana ezigambibwa nti za kimpatiira ezituuzibwa mu wooteri ye eya Imperial Royale mu Kampala. Enkung'aana ezoogerwako kigambibwa nti zaali za Minisitule y'ebyobulamu n'ey'ebyemirimu, wabula nga bekikwatako, bakola ku mpapula eziraga nti zatuula ekitali kituufu.
Ensonda ezitabaguka na bigambo zitubuulidde nti poliisi eyagala Karim ono anyonyole buloungi ebigambo ebikwata ku bukadde bwa sillingi 140 ezitamanyiddwa bwezaakozesebwa weewaawo ng'abamu balaga nti zaakola ku lunkung'aana olwatuula mu November wa 2011.
Guno mulundi gwa kubiri nga Karim yeeyanjula eri poliisi ebuuliriza ku buzzi bw'emisango.
Ku ntandikwa y'omwezi guno, Karim yoomu bamubuuza ebikwata ku bukadde bwa sillingi 76 nazo ezigambibwa nit zaakola ku lukung'aana.
Повторяем попытку...
Доступные форматы для скачивания:
Скачать видео
-
Информация по загрузке: